iro bufuga engeri ekiragiro gye kiwandikamu obudde mu mitwe gy'empapula ze kikola mu biva mu FAYIRO. Obubonero bw'ossa awali ekigambo NTEREEZA kibiwandikawo nga tekibikyusizzaako (okugyako obusookerwako '%') Okugeza, bw'owandika --date-format="Balaza Lwaggulo ", mu mutwe gwa buli lupapula 'pr' lwe kikola mu biva mu FAYIRO kiwandikamu nti Balaza Lwaggulo. -e[LUSEETUKA[BUNGI]], --expand-tabs[=LUSETUKA[BUNGI]] Kano akawayiro kaleetera ekiragiro buli we kisanga obubonero obutegeeza nti awo waliwo oluseetuka nga kikola ku FAYIRO, mu bye kifulumya, okussawo akabangirizi. Singa mu FAYIRO baba nga obubonero bwebakozesezza okulaga nseetuka ssi bwe bwa bulijjo, awali ekikongozzi LUSEETUKA ossaawo obubonero obwo bwe baakozesezza. Obubonero obwo bwe buba nga obungi bwabwo bwa njawulo ku bwa bulijjo, awali ekikongozzi BUNGI w'owandikira obungi bw'obubonero bwe baba bakozesezza. -F, -f --form-feed Bw'ossawo kamu ku buno kaleetera ekiragiro, bwe kituuka ku nkomeroro ey'olupapula, okussaawo obubonero obufuzi obuleetawo okukyusa lupapula mukifo eky'obulagira kutandika lunyiriri lupya obw'emirundi esatu