nga kano akawayiro tekaliko era n'aka '-G' nako nga tekaliko, kasita kisanga ekirimu obubonero nga nnukuta ekyo kikibala ng'ekigambo ekiky'okukolako -b, --break-file=FAYIRO Buno obuwayiro obweyambisa okyusa engeri ekiragiro gye kitegeeramu nti ekigambo kikomye. FAYIRO ogiwandikamu obwo obubonero bwonna bw'osazewo nti tebusobola kuba mu kigambo eky'okukolako. Olwo ekiragiro buli lwe kituuka ku kabonero akali mu FAYIRO nga kimanyi nti kimazeko ekigambo -f, --ignore-case Buno ate bukireetera obutayawula mu nnukuta nnene n'entono bwe kiba kisengeka bigambo -g, --gap-size=BIFO Buno ate bwe kafuga obungi bw'ebifo ebyereere ekiragiro bye kiteeka wakati w'ebitundu by'ennyiriri ez'omu bivaamu. Ennamba gy'oteeka awali BIFO bye ebifo ebyereere ebisinga obutono ebikkirizibwa okubeerawo -i, --ignore-file=FAYIRO Bw'okozesa kamu ku buwayiro buno, buli kigambo ky'owandika mu FAYIRO ekiragiro tekikikolako era mu lukalala olukolebwawo tekibaamu -o, --only-file=FAYIRO Buno bwo bw'obukozesa olwo ekigambo ky'otatadde mu FAYIRO ekiragiro tekikikolako era mu lukalala olukolebwawo tekibaamu